BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

omwana omu afiiridde mu muliro ogukutte ekisulo

Omuliro gukutte essomero lya St. Jude Primary School Kakooge erisangibwa e Nakasongola negutta omwana Favol Etenal abadde asoma ekibiina ekisooka ye Matron Miriam Bihingirwe negumuleka ku kitanda.

Bihingirwe ozirika yabadde ataasa baana nga abafulumya ekisulo bwatyo naddusibwa ku ddwaliro St Franciscan Health Center IV. Poliisi egamba nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro ku lw’okusatu. Guno gwakutte ekisulo ky’abaana abawala ekibadde kibeeramu abasoba mu 100 nga babiina okuva ku P.4 okutuuka ku P.7.

George William Kajura, District Education Officer, wa Disitulikiti y’e Nakasongola agambye nti omwana eyafudde kyavudde ku kuziyira matron bweyamwerabidde nga agenda okutaasa abaana abalala.

Abaana bagamba nti omuliro gwatandikidde ku ttaala y’amafuta negudda ku katimba k’ensiri, emifaliso oluvannyuma negwokya ekisulo era nga ekyaguleetedde okweyongera be baana okusamba ettaala nga badduka okwetaasa omuliro kuba amasanyalaze gaabadde gagenze.

Brother Viane Tongeirwe, Omukulu w’essomero agamba nti ebintu ebiwerako byasirikidde mu muliro era nga essomero lino lirimu abayizi 1130 era nga abayizi 200 bebali mu kisulo.

 

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply