Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 301 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omwana eyabula e Mukono omulambo gwe gusangiddwa mu kasaka

January 16, 2022 · Mubiru Ali
Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okukyalo Ggamba ekisangibwa mu Gombolola y’e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono, abatuuze bwebagudde ku mulambo gw’omwana omuwala Nakavubu Praise Lugoloobi 6, eyabuzibwawo ng’ava ku ssomero.
Nakavubu yabuzibwawo ku lunaku olw’okusatu ng’ava ku ssomero lya Katente Church of Uganda era okuva olwo abatuuze n’abazadde babadde basamba nsiko nga bamuyigga.
Poliisi e Mukono evuddeyo netegeeza nti atandise okunoonyereza ku nfa y’omwana ono oluvannyuma lw’omulambo gwe okusangibwa nga gusuuliddwa mu kasaka.