Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 972 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Omwana amaze emyaka 4 nebbwa eryamulya omutwe gwonna bamulongoosezza

April 3, 2023 · Mubiru Ali
Emmanuel Lopuriang 7 mutabani wa Kiyonga Anna okuva e Kotido mu Gombolola y’e Rengen, mu Muluka ggw’e Kotyang ku kyalo Naitakwae yafuna ekirwadde ekitategeerekeka okumala emyaka 4 nga kino kyamukuba amabwa omutwe gwonna natwalibwa mu Ddwaliro lya Moroto Regional Referral abasawo kyebannyonyola nga ‘skull tissue complication’. Ono yatandika okufuna obujanjabi ku Panyangara Health Centre wabula olwobutabaawo ddagala n’abakugu abayinza okujanjaba obulwadde bweyongera era bano bebamuweereza mu Ddwaliro ekkulu e Moroto.
Emmanuel yafuna omukisa ngayambibwako aba TMF abamuleeta ku Ddwaliro lya Medipal ku Sunday.
Okusiziira ku Dr Adnad Khan- CEO Medipal International Hospital agamba nti ono yalongoseddwa wabula ngabadde nekiwundu ekyatana ekyali kyetaaga okumulongoosa nga byonna byakoleddwa kubwereere.