Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 307 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omwami w’eSsaza Mawokota atuuziddwa

February 10, 2020 · Mubiru Ali

Kayima omuggya, Gabriel Kabonge atuuziddwa mu butongole kubwami bw’essaza Mawokota wamu n’abamyuka be Patrick Ssemalawa ne Godfrey Mujuzi Pizarro.

Minisita w’emirimu egy’enkizo David Mpanga yakoze omukolo gw’okubatuuza ng’ali wamu ne Ssaabawolereza w’obwakabaka Owek Christopher Bwanika ne Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki ku mbuga y’essaza e Butoolo Kamengo.

Owek Bwanika asabye Kayima n’abamyuka be okuweereza banna Mawokota n’obwesige wamu n’okunyweza obwa sseruganda mu bantu ba Kabaka.

Owek David Mpanga akubirizza abatuuziddwa okulwanyisa obwavu, obutamanya, enjawukana kubanga Kabaka abantube abatwalira wamu, okulwanyisa ekibba ttaka, okukuuma obutonde bwensi, abasabye babeere eky’okulabirako mu nsonga z’obukulembeze.

Kabonge azze mu bigere bya David Ssekyeru eyava mu bulamu bwensi eno.