Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 355 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
Sports

Omuzibizi Munnayuganda aguliddwa ttiimu ya Huddersfield Town

July 8, 2019 · Mubiru Ali
Omuzibizi Munnayuganda Herbert Bockhorn 24, yegasse ku ttiimu ya Bungereza Huddersfield Town ku ndagaano yamyaka 2 okuva mu ttiimi ya Germany eya Borussia Dortmund II esambira mu kibinja kya Regionalliga.
Bockhorn yazaalibwa nga 31 – January – 1995, mu Kampala nga Maama we ye Jean Marion Nansubuga ate Taata ye munnansi wa Germany Hartwig Bockhorn. Bano oluvannyuma basengukira e Germany, Bockhorn gyetandikira okusamba omupiira mu ttiimu ya TSV Melsdorf.
Nga 9 – March – 2019, Bockhorn yayitibwa Desabre Sébastien (officiel) ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes okubeera ku ttiimu eyali egenda okusamba omupiira gw’okukiika mu kikopo kya AFCON 2019 Uganda bweyali eyambalagana ne Tanzania.