Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 361 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omuyizi yetuze lwakulya fiizi

June 25, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!

Omuyizi wa Siniya ey’okubiri mu Nyenga Senior Secondary School erisangibwa e Kigudu mu Njeru Central Division, Njeru Municipality mu Disitulikiti y’e Buikwe yeyimbyemu ogwakabugu oluvannyuma lw’okulya fiizi.

Mutalabani Ssemugooma 16 yasangiddwa nga alengejja mu kisenge kye ku kyalo  Kiryowa. Isa Kabere agamba nti muganda we yagenda ewa Maama waabwe namuwa ssente za fiizi wabula natatuuka waka. Bweyakomawo ku lw’omukaaga namubuuza wa gyeyabadde asuze namutegeeza nti yabadde mu ‘Casino’.

Kabere agamba nti bazadde baabwe bwebaali tebanagende e Iganga okuziika baleka bamugambye amukubemu embooko 3 nga ekibonerezo era kyeyakola.

Wabula akawungeezi ku ssaawa kumi nabbiri ez’olweggulo bweyamala okusamba omupiira ne banne nabasiibula nti agenda kwetta wabula bbo nebatakitwala nga nsonga. Bweyakomawo awaka yabayitako emisinde nga balowooza nti agenda kunywa mazzi oluvannyuma lw’okusamba omupiira nayingira mu kisenge kye neyesibirayo nakozesa olugoye okwetuga.