Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 250 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omuyizi w’e makerere attiddwa

December 26, 2018 · Mubiru Ali

Kitalo!
Omuyizi abadde mu mwaka ggwe ogw’okusatu nga asoma Social Sciences e Makerere awambiddwa abantu abatanamanyika ate oluvannyuma nebamutta ku lunaku lwa ssekukulu. Simon Ashaba nga abadde asula mu kisulo kya Nkurumah yawambibwa abantu abatategerekeka nebatandika okusaba aba Family ye ensimbi wabula ate oluvannyuma nebabategeeza nga essimu ye gyeyalina eya iPhone bweyali emala okumweyimirira bamusonyiwe.
Aba Family ye balowoozezza nti byabadde biwedde nga era bamusuubira okudda wabula kyababuseeko okubategeeza nti yabadde asuuliddwa e Butabika gyebamugye okumutwala mu ddwaliro e Kibuli gyebakizuulidde nti yabadde aweereddwa obutwa, era ekiro ekyakeesezza olunaku lwa Ssekukulu bwatyo nassa ogwenkomerero. Ono wakuziikibwa nga 27 – December e Rukungiri.