Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 109 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Omuyizi wa Yunivasite afiiridde mu nnyanja – Buyikwe

October 10, 2016 · Mubiru Ali

Police mu Disitulikiti y’e Buyikwe etandise okunoonyereza ku ngeri Omuyizi mu ttenedekero lya Mbarara University erisomesa amasomo ga ssaayansi ne Tekinologiya ow’ekikugu, nga ono ye Shafik Mulondo ow’emyaka 21 gyeyafiiridde mu Ffaamu ya mukwano gwe ku nsonga ezitannaba kutegeerekeka.

Radio Simba mu kwongerako n’omwogezi wa Police mu bitundu bya Ssezibwa, Lameck Kigozi, n’atutegeeza nti Omuyizi ono ku lwomukaaga yagenda n’akyala ku Ffaamu ya munywanyi we Mw. Akisam Bob Byansi nga Ffaamu eno eri Ssi – Bukunja nti era babadde batera okugendayo nga baagala okulaba engeri gyakulaakulanyaamu ekitundu ekyo.

Wabula Police eri mu kunoonyereza oba nga ddala waliwo omuntu eyamusindise mu nnyanja eri ku Ffaamu eno oba nga yaguddemu mu butanwa. Kitalo.