Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 306 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Omuyizi wa myaka 23 akubiddwa amasasi mu kikwekweto ky’okulwanyisa obubbi bw’ente – Katakwi

November 23, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze mu kabuga k'e Ngariam mu Disitulikiti y'e Katakwi baagala Gavumenti ebaliyirire olw'abajaasi b'eggye lya Yuganda erya UPDF okukuba amasasi omuyizi wa myaka 23 naafirawo bwebaabadde mu kikwekweto ky'okuwalwanyisa ababbi b'ente nga kino kyaliwo ku Sande ewedde.

Omugenzi abadde amanyiddwa nga George William Ojikan omuyizi mu ssomero lya Ngariam Seed Secondary School.

Peter Oduko aduumira Police mu Disitulikiti y'e Katakwi atutegeezezza nti omugenzi baamwefaanaanyirizza ng'omubbi w'ente kubanga baamugambye n'okweyogerako bamutegeere ate ye n'assaako kakokola tondeka nnyuma olwo nebamwokya essasi era alipoota ya Police eraga nti essasi lyamukutte ku mutwe n'afa olw'okuvaamu omusaayi omungi .