Omuyizi wa Kyambogo eyakubwa amasasi mukwekalakaasa ku monday afudde

Rachael Ayebazibwe ng’abadde muyizi mu University  y’e Kyambogo mu mwaka ggwe ogusembayo (Bachelors Degree course in Microfinance) nga era abadde alindirira kuttikirwa afudde. Ono yakubwa esasi nagenda mu comma ku Monday nga 20 – August Police n’amaggye bwebaali bagumbulula abantu abaali bekalakaasa mu kibuga nga baagala omubaka Kyagulanyi ateebwe.

Aba family bagamba nti ono ku lunaku luno yali akedde kutwalira Supervisor we Report ye e Kyambogo ku University, wabula kyababuukako bwebafuna essimu nga babategeeza nti Rachael yali akubiddwa esasi era nga addusiddwa mu ddwaliro lya Victoria Hospital e Bukoto nga ali mu mbeera mbi nnyo.

Amanya German Guild President wa Kyambogo University yategezeza nti Recheal abadde muntu mulamu ayagalawa buli omu ate nga atya Katonda. Ono ne bayizi banne basazeewo okugenda ku mukutu gwa Face book okukungubagira munaabwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ababaka balabudde akakiiko k’ebyettaka