Omuyizi wa KIU asindikiddwa e Luzira lwakuweereza mubaka bubaka

James Omara 23, nga muyizi wa mu mwaka ogw’okusatu nga asoma Computer Science ku Kampala International University yasindikiddwa ku mmeere e Luzira lwakusindikira mubaka wa Disitulikiti y’e Omoro Catherine Lwamwaka obubaka ku ssimu ye, ye bwagamba nti bumumalako emirembe.
Omubaka Catherine agamba nti ku lunaku lw’abagalana Omoro yamusindikira obubaka obwali bugamba nti; ‘Nkwagaliza olunaku lw’abagalana Omubaka wange’ ‘Happy Valentines My MP’ nti era yagenda mu maaso namuweereza obubaka obulala obwali bugamba nti; ‘Lwaki osanga obuzibu okwogera nange kati, kale genda mu maaso ng’ovuga’ β€œWhy are you so desperate to talk to me now, continue driving”.
Omubaka agamba nti Omoro teyamusindikira bubaka bwa mukwano wabula yamuweerezanga obubaka obumumalako emirembe. Omoro yakwatiddwa Poliisi ya Palamenti natwalibwa mu Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa omusango gwa ‘Offensive Communication’ bwatyo nasindikibwa ku alimanda e Luzira okutuuka nga 17 April.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
ABASUUBUZI B’ENTE BAZIBYE EKUBO E LUKAYA