Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 230 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Omuyizi eyakubwa bbomu akoze ebigezo

November 7, 2018 · Mubiru Ali

Ashraf Igembe omuyizi wa Mother Care Bright Academy e Kagoma eyakubwa bbomu ng’ali mu kibiina omwezi oguwedde yatwaliddwa okukola ebigezo ng’ali mu bulumi nga tasobola wadde okuwandiika, era obwedda ayogera bwogezi ne bamuwandiikira.
Bazadde ba Igembe baamukeezezza ku Kadic Hospital e Kawempe oluvannyuma lw’okusula obubi ng’alumizibwa mu lubuto. Ku ssomero lya St. Andrew C.O.U e Migadde gye yatuulidde ebibuuzo aamutuusizzaayo ku ssaawa 2:00 ez’oku makya.
Kyokka waabaddewo okukaayana wakati w’abakuuma ebigezo n’abazadde abaabadde bawakanya ky’okumuteeka mu kibiina omuli enfuufu mw’aba akolera ebibuuzo. Oluvannyuma abakuuma ebigezo baapondoose ne bamuteeka mu ofiisi y’omukulu w’essomero gye yakoledde ebibuuzo.