BREAKING NEWS
MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits Observer: The mind at work East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Omuyizi akubiddwa essasi erimutiddewo

Essomero lya Nyakitoko Secondary School ligaddwa oluvannyuma lw’omuyizi okukubwa essasi n’afiirawo ate omulala nalumizibwa byansusso Poliisi bweyabadde egezaako okukkakanya abayizi ababadde bataamye obugo.

District Police Commander wa Buhweju Boniface Kinyera, agamba nti omuyizi nga ye Innocent Natuhangana nga abadde asoma mu Senior Four ye yakubiddwa essasi eyamutiddewo Poliisi bweyabadde etaasa ebintu by’omukulu w’essomero Alex Tumuramye ebyabadde byononebwa abayizi nga bamulanga okulemererwa okutambuza esomero lyabwe.

Abasirikale ba Poliisi okuva ku Poliisi y’e Burere police post bazze mangu okukkakanya abayizi ababadde batandise okwonoona ebintu by’omukulu w’essomero.

Mukugezaako okugumbulula abayizi Natuhangana yakubiddwa essasi mumugongo erya mulumizza ennyo ate ye Felix Musimenta asoma ekibiina kya Senior Six yeyakubiddwa mu mukono.

Natuhangana yaddusiddwa mu ddwaliro lya Kampala International Hospital e Ishaka wabula nasindikibwa e Mulago mu Kampala wabula n’afiira mukubo.

DPC agamba nti abasirikale ababiri abakubye abayizi wamu n’omukuumi w’esomero Naboth Kansiime bwakwatiddwa era nga kati bali ku Poliisi.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply