Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 226 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Omuyizi akubiddwa ejjinja n’akalirawo – Mbale

July 25, 2017 · Mubiru Ali

Omuntu omu afiiriddewo mbulaga n’omulala n’addusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvannyuma  lw’okukubwa ekiyinja ekinene ekiwamatuse waggulu mu lusozi.

Kkansala Mabonga Micheal atwala ggombolola y’e Wanale mu Disitulikiti y’e Mbale,  agamba nti omufu ye Kayinza Peace Sandra ow’emyaka 15 era ng’abadde asoma mu Hiltop Primary School erisangibwa e Wanale mu Mbale so nga afunye ebisago ye Mafabi Moses ow’emyaka 35 nga bano bombi babadde bava mu nnimiro nga badda waka .

Ayogerera Police mu bitundu bya Elgon,  Mansoor akakasizza bino era n’agamba nti kivudde ku namuttikwa w’enkuba afudemba aviiriddeko ejjinja okuwamatuka ku lusozi.