Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 888 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omuyindi agobye abatuuze ku byalo 6

April 10, 2020 · Mubiru Ali

Omusuubuzi Abid Alarm akwatiddwa nasoyebwa kajogijogi w’ebibuuzo abasirikale ba Poliisi abakola n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi n’obukennuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga.
Abid okukwatibwa kivudde ku Bantu okuvaayo nebekubira enduulu eri akakiiko nti batulugunyizibwa wamu n’okukubwa ng’entabwe eva ku ttaka erisangibwa mu Disitulikiti y’e Mityana n’e Kassanda.
Omulundi ogusembyeyo lwerulumba olwakoleddwa ku ffaamu ya Maj. Arthur Mugenyi ku wiikendi nebonoona ebintu n’ebirime, okukuba Abakozi wamu n’okusobya ku mukazi wa maneja wa ffaamu ekirindi.
Ono aguddwako emisango 27 omuli; okusibya abatuuze mu bukyaamu, wamu n’okutulugunya Abantu nga entabwe eva ku ttaka eriweza square miles 5 ku byalo okuli; Bukoba, Kika, Kakungube ne Bukompe ebisangibwa mu Gombolola y’e Nalutuntu, mu Disitulikiti y’e Kassanda