Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 970 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

‘Omuyimbi omu yekka gwetugaana okuyimba naye abalala bayimba’ – Ofwono Opondo

April 23, 2019 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo avuddeyo nayanukula ekitebe ky’Amerika mu Yuganda; “Gavumenti ezuubira abakulembeze okugoberera wamu n’okugondera obukwakulizzo wamu n’ebiragiro ebiteekebwawo ebitongole by’ebyokwerinda nga bakola emirimu gyabwe. Ng’ojjeeko omuyimbi omu, abayimbi abalala mu Yuganda beyagalira mu ddembe lyabwe nga bayimba wamu n’okukozesa emikutu gy’ebyempuliziganya gyonna awatali abakuba ku mukono. Ne Bannabyabufuzi abalala beyambisa emikutu gyonna gyebaagala. Gavumenti ya Yuganda ekiririza munfuga ey’amateeka ne Ssemateeka awa bantu eddembe okutambula,okukungaana wamu n’okwoleka ekibali ku mitima.”
Bino byonna bigenda mu maaso nga omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine Poliisi emugaanye okuva awaka okubaako wonna wagenda nga n’ekivvulu kye ekyabadde kirina okubaayo ku Easter Monday Poliisi yakirinyeemu eggere.