Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Omuyimbi e Kabale asobezza ku muyizi w’essomero

July 16, 2018 · Mubiru Ali

Robertson Nasasira, amanyiddwa nga Robie Rab nga muyimbi walinnya mu Kabale akwatiddwa Poliisi kubigambibwa nti yasobya ku mwana omuwala ow’emyaka 14 nga muyizi mu ssomero lya Secondary.

Elly Maate nga ye mwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kigezi yagambye nti Nasasira mutuuze w’e Kanyakiriro mu Central Division e Kabale yasobya ku mwana ono olweggulo mu kifo ekimanyiddwa nga Kachwekano okuliraana ennyanja Bunyonyi.

Kigambibwa nti Nasasira nga ali wamu n’omusajja omulala atanategeerekeka nga baali batambulira mu motoka ekika kya RAV 4 nnamba UAP 605P, basanga omwana ono nga ava ku somero lya Kabale Secondary School nebamugamba bamutwaleko, wabula nebekyuusa mu kubo nebavuga nga boolekera ennyanja Bunyonyi nebamusiba emikono n’amagulu era nebamusobyako.

Maate agamba nti bano olwamala okumusobyako nebamusuula ku kubo era nga yasangibwa omuvuzi wa Boda boda eyamuyamba okumutwala ku Poliiso era nga eky’omukisa omulungi yali yetegerezza abantu bano era nabannyonyola Poliisi eyatandika omuyiggo era nebakwata.