Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 350 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omuwendo gw’abantu ababundabunda guyingidde obukadde 65

June 19, 2017 · Mubiru Ali

Omuwendo gw’abantu ababundabunda  mu nsi yonna gweyongedde nga kati gutuuse ku bukadde 65 mu emitwalo nkaaga omwaka 2016 wegwaggwerako. 

Bino bikakasiddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku babundabunda ekya United Nations Refugee Agency.

Okusinziira ku Mwogezi w’ekitongole kino William Spindler, agamba nti mu mwaka gwa 2016 gwokka abantu obukadde kkumi mu emitwalo asatu (10.300.000) bebaagenda mu kubundabunda. Bino webituukidde nga eggwanga lyattu Yuganda liteekateeka okutuuza olukiiko olugenda okuteesa ku nsonga z’ababundabunda na butya bwebasobola okuyambamu amawanga gano agabudamya abantu era nga lugenda kutuula nga ennaku z’omwezi 22 ne 23 omwezi guno ogwa Ssebaaseka omwaka guno mu Yuganda.

Era olukiiko  luno lugendereddwamu okusonda ensimbi ez’okwongera okudduukirira eggwanga lyattu Yuganda erisinga okubaamu ababundabunda.

Sssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda agamba nti Yuganda yeetaaga ensimbi olw’omuwendo gw’ababundabunda okweyongera buli olukya.