Omuwala eyalabikidde mu katambi ngakubwa aguddewo omusango ku Poliisi e Kawempe

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza ng’omuwala eyalabikidde mu katambi ngakubwa banne olwomuvubuka bweyazuuliddwa era nebaggulawo omusango ku Poliisi e Kawempe. Wabula nti omusango guno gwadizibwa mu bitundu bya Kira Municipality mu zimu ku nnyumba ezipangisibwa.
Luke agamba nti omuwala ono yasuze ku Poliisi e Kawempe webakuumira ababa batulugunyiziddwa oluvannyuma lwokulaga obubonero nti yandi dduka ku Maama we nabulawo.
Share.

Leave A Reply