Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 269 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Omuwala alimbye nti bamuwambye afunire muganzi we ssente

October 25, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole kya Poliisi ekya Flying Squad kikutte Regina Nakiwu 18, lwakulimba nti yawambiddwa asobole okubba ku kitaawe obukadde bubiri. Nakiwu yegatta ne muganzi we William Ssenyonga bafune ssente okuva ku Taata wa Regina.

Ssenyonga agamba nti yakubira Nakiwu ajje amukyalireko ewuwe e Kawaala kasubi wabula bwebaali banyumya nga bayiiya kiki eky’okukola okulaba nga business ye ey’okutunda engatto ekula Nakiwu namuwa amagezi nti akubire Taata we amugambe nti amuwambye era ayagala obukadde bubiri.

Ssenyonga yakiraba nga kikola era nakubira Ponsiano Mbaziira Taata wa Nakiwu era namutiisatiisa okumutta singa taleeta ssente zino

Mbaziira yasaba obudde anoonye ssente zino era naddukira ku Poliisi n’asaba Flying Squad emuyambe nebatandika okunoonyereza ku ssimu era nebabasanga mu nnyumba ya Ssenyoga e Kawaala nga balya kyamisana. Nakiwu yateegezezza Poliisi nti yabadde anoonyeza mwagalwa we ssente asobole okwongera mu business ye asobole okufuna ssente ez’okumwanjula.