Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 381 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omuwagizi wa People Power afudde biwundu bya kabenje ka Booda booda – Luke O

February 24, 2020 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire avuddeyo nafulumya ekiwandiiko ku Muwagizi w’ekisinde kya People Power – Uganda agambibwa okutomerwa kabangali ya Poliisi nafa nga atuusiddwa mu ddwaliro e Mulago.Poliisi egamba nti olwaleero ku ssaawa bbiri ez’okumakya emabega w’akatale k’e Nakawa nga oyolekera ekitebe kya Division y’e Nakawa owa Booda booda nnamba UEY 675Y abadde agezaako okuyisa kabangali ya Poliisi nnamba UP 4841 wabula natomeregana n’owa Booda booda omulala etategerekese kuba adduse.Omusaabaze Nabukenya Ritah nga mutuuze w’e Bunnamwaya afunye ebiwundu eby’amaanyi oluvannyuma lw’okuggwa nga ava ku Piki piki era naddusibwa mu ddwaliro ly’e Mulago motoka ya Poliisi gyafiiridde.Fayiro eguddwawo ku Poliisi ya Jinja Road era nga nababaddewo bakoze sitaatiment. Poliisi egamba yakujjayo obutambi bwa kkamera enkettabikolwa okuzuula ekituufu ekibaddewo.Wabula ekiwandiiko ekifulumiddwa kiriko enaku z’omwezi enkadde nga kiraga kyafuluma 24 – Feb – 2018.