Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Omuwagizi wa Bobi Wine akubiddwa esasi erimutiddewo e Gomba

August 25, 2018 · Mubiru Ali

Vincent Sserunga nga muvuzi wa Boda Boda mu kabuga k’e Bukalagi mu Gomba yeyakubiddwa omusirikale wa Poliisi  esasi eryamutiddewo. Kigambibwa nti bano bekalakaasizza oluvannyuma lw’omubaka wa Kyaddondo okuteebwa kkooti y’amaggye ate naddamu okukwatibwa Poliisi ku misango gy’okulya mu nsi ye olukwe.

Abavubuka ababadde bataamye obugo okuva mu Gomba Bobi Wine gy’azaalwa bebesuddemu akambayaya nebaziba enguudo zonna nga balaga obutali bumativu bwabwe olwa Poliisi okuddamu okukwata omwana waabwe.

RPC w’ettundutundu ly’e Katonga Joseph Musana, agamba nti Sserunga yakubiddwa omusirikale wa Poliisi Jonny Nteziramira bweyabadde agezaako okwetaasa nga amulumbye n’ejjambiya n’embazzi.