Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 554 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omuwaabi wa Gavumenti mu gwa Ssegiriinya ne Ssewanyana aggyeeyo obujulizi

February 13, 2023 · Mubiru Ali

Omuwaabi wa Gavumenti, Richard Birivumbuka avuddeyo nategeeza nga bwaggyeeyo obujulizi bwa; Thomas Jatiko, Jennifer Amumpaire ne Detective SP Innocent Mubangizi, bwebawaayo nga 23-January, 2023 mu musango gwobutemu oguvunaanibwa Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Allan Ssewanyana ne Ssegiriinya Muhammad.

Birivumbuka era ategeezezza Kkooti nti DPP yabalagidde obutalemesa Babaka bano kweyimirirwa nabagamba baweeyo ndowooza yaabwe ku bukwakulizo ki obulina okuteekebwawo ku kweyimirirwa.