🚨 Omuvuzi wa Takisi Asiimwe Isa nga mutuuze w’e Bulenga mu Disitulikiti y’e Wakiso asimbiddwa mu Kkooti y’Amaggye navunaanibwa omusango gwokusangibwa nga ayambadde ekyambalo ky’Amaggye ngate muntu wabulijjo.
Asiimwe omusango agukirizza mu maaso ga Bammemba 3 abakuluddwa Brig. General Richard Tukacungura nga kati alindirira kibonerezo.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

