Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,064 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omuvubuka yetuze lwakumukyaawa

April 17, 2020 · Mubiru Ali

Waliwo omuvubuka ategeerese nti ye Adrian Mujuni yeyimbyemu ogwakabugu oluvannyuma lw’omukyala gwabadde ayagalidde ebbanga eggwanvu okumukyawa namulagira asibemu ebibye amuviire mu nnyumba ye ku kizimbe kya Kayondo Plaza, ekisangibwa mu Cinema Cell omuwala w’asula.Kigambibwa nti Adrian yavudde Mbarara n’ajja ewa muganzi we Miriam Kyobutungi amwegayirire amuddiremu wabula omuwala neyerema. Miriam bwalabye Adrian amulemeddeko kwekuddukira ku Poliisi emutaase ku Muvubuka ono wabula wakomeddewo ne Poliisi emusanze yeyimbyemu dda ogwakabugu nakirira ezzirakumwa.Ssentebe Serei Ndawula agamba nti bano babadde baludde nga bagugulana nga ensonga zaabwe ziri ku Poliisi kuba Adrian abadde atiisatiisa okwetta singa Miriam tamuddiramu.Poliisi y’e Masaka eggyeewo omulambo negutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Masaka.