omuvubuka yesudde mu motoka

Abatuuze b’e Kagoma ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu bawuniikiridde omuvubuka bweyesudde mu mmotoka ebadde edduka sipiidi n’emutirawo.
Omuvubuuka ono tewali amanyi bimukwatako nga bamulabye nga ayingira ekkubo emmotoka ebadde egenda e Luweero ekika kya sinotruck bwalabye emutuuseeko kwekugyiyingiramu okukkakkana nga emusse era dereeva w’emmotoka eno alabye tabisobole bwatyo nadduka nga tewali asobodde kukwata nnamba puleeti.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Joseph Ssendawula bateegeezezza nga bwebalabye omuvubuka ono nga ayimiridde emabbali g’ekubo ne balowooza nti agenda kusala kkubo, naye kibaweddeko okulaba nga ye kenyini yeyesudde mu mmotoka oluvannyuma ly’okugyirinda n’emutuukako okukkakkana nga emutomedde ne muyiwa ebyenda.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
ABATUUZE E GOMBA BATEMYE ABABAGOBA KU TTAKA