Img 20200526 Wa0022

Omuvubuka yesazesaze e Wakiso lwakubulwa kyakulya

Waliwo Omuvubuka ow’emyaka 26 akedde okwesalasala omubiri gwonna mbu ngayagala okwetta olwa Gavumenti okulwawo okumuwa emmere era nga amazze ennaku nga talina kaakulya kyonna.
Bino bibadde mu kabuga k’e Kiweebwa ku luguudo lwa Ssemuto mu Gombe Nansana Municipality mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Turyakayo Farouk yakedde okwesalasala omubiri gwonna ngakozesa akambe n’eccupa era nga yesaze obulago ne mikono wabula nga abatuuze basobodde okuyita Uganda Police Force ye Jagala nemuddusa mu ddwaliro lye Mmanze-Busaawa Health Centre III okufuna obujanjabi wabula nga embeera ye sinungi.
Abatuuze aboogeddeko ne Radio Simba bategeezezza nti omuvubuka ono asoose kubaako basaba mmere naye nebatamuwa kwekusalawo yette.
Wabula Radio Simba etuuseeko ku ddwaliro omuvubuka ono gyatwaliddwa natutegeezza nti abadde asazeewo yette kubanga talina kyakulya ate nga n’abatuuze bagaanyi okumuwa ku mmere mbu nga bamusosola ate nga talina na ssente zimuzza waabwe e Rukungiri.
📸 Bya Ssaabwe Fred Mugabi

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply