Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Omuvubuka ow’emyaka 25 asibiddwa emyaka 2 lwakukwana mubaka ku Facebook

July 5, 2018 · Mubiru Ali

Brain Isiko 25, nga muyizi kutendekero lya YMCA e Jinja olunaku lwaleero yasindikiddwa mukomera amaleyo emyaka 2 lwakukiriza musango gwa Cyber Harassment.

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Gladys Kamasanyu yasindise Isiko mukomera lwakuweereza bubaka wamu n’okukuba amasimu agakwana nga akubira Omubaka Omukyala wa district y’e Kabarole Sylvia Rwabwogo nga tamulabangako.

Omubaka agamba nti omuvubuka ono yamukubiranga wamu n’okumuweereza obubaka obumukwana mu kaseera ka Togikwatako nalowooza nti waliwo ayagala okumutusaako obulabe.

Hon. Sylvia era agambye nti omuvubuka ono lumu ekiro yamuweereza obubaka nti alemeddwa okwebaka kuba yali amulowozaako. Omubaka yatwala ensonga zino ku Poliisi ku Lukiiko olukulu olw’eggwanga nebamuwa omukuumi nebateesa okusisinkana nga 11 – june – 2018 ku Java House e Lugogo era Isiko najja nebamukwata.

Isiko asaliddwa emyaka 2 olwa cyber harassment n’emyezi 9 olw’okukozesa olulimi olubi era Kkooti nesalawo byonna bitambulire wamu.