Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 270 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

OMUVUBUKA EYABIKA IGP OCHOLA AMUSONYIYE

October 19, 2021 · Mubiru Ali
Omuduumizi wa Uganda Police Force Inspector General of Police Okoth Martin Ochola asonyiye omuyizi wa Siniya eyokubiri Mubiru Mubaraka eyamubika ku Social media.
Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekikola kukunoonyereza Charles Twiine agamba nti nga 22-September-2021 obubaka obubika IGP Ochola bwateekebwa ku ‘Facebook’ eri mu mannya ga BRISON OLYWL OZ nti era bwebakoze okunoonyereza bakizudde nti yaggulwawo nga bakozesa ennamba y’essimu eri mu mannya ga Nakazibwe Fatumah.
Bwebakutte Nakazibwe neyegaana okubeera ku mukutu gwa Facebook wabula nabategeeza nti Mutabani we Mubarak yakozesa essimu nebamukwata.
Bwebamubuuzizza yakirizza nti yennanyini mukutu ogwo nti era yeyateekayo obubaka obwo.
Twiine agamba nti bwebategeezezza IGP Ochola nti bamaze okunoonyereza, nabategeeza nti amusonyiye olwokuba akyali mwana muto. Twiine agamba nti fayiro aweerezeddwa ewa Director of Public Prosecutions okumujjako emisango egyali gimugiddwako, ye Mubarak bamubuuliridde nebamukuutira okweyisa obulungi okwewala okuddamu okuzza omusango gwegumu.