Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 226 listening Simba FM Live

Omuvubuka e Kazo yekumyeeko omuliro lwa Poliisi kumukuba kipapula

July 25, 2020 · Mubiru Ali

Omuvubuka omulala mu Disitulikiti y’e Kazo ali mu kunyiga biwundu oluvannyuma lw’okwekumako omuliro oluvannyuma lw’okukwatibwa omusirikale wa Traffic nagaana okumusonyiwa.
Mugisha Akora 23, nga mutembeeyi wa ssabuuni yeyamiriziddwa abasirikale ba Uganda Police Force okuva mu kitongole ky’ebidduka e Bugolobi ku luguudo lwa Kazo – Ibanda nalagirwa okusasula emitwalo 4 nga engasi olw’obutayambala mask ne Helment.
Mugisha agamba nti bizineesi ye teweza mitwalo 4 yegayiridde abasirikale bamusonyiwe wabula nebagaana.
Ono yakozesezza amafuta agabadde gasigadde mu Piki piki ye ekika kya Senke nnamba UEG 416D okwekumako omuliro.
Okusinziira ku OC Traffic ku Kazo Police Station Drabo Charles agamba nti Mugisha yaweereddwa engasi eyabuliwo ya mitwalo 4 wabula ye nasalawo kuddukira mu nsiko eyabadde okumpi yekumeko omuliro.