Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 352 listening Simba FM Live

Omuvubuka alabikira mu katambi nga abanja omusirikale essimu mumenyi w’amateeka – Onyango

June 14, 2020 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force mu Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango yavuddeyo ku katambi k’omuvubuka eyabadde ku Poliisi y’e Kyaliwajjala nga abanja essimu ye gyagamba nti yamugibwako omusirikale bwebamukwata.
Onyango agamba nti Kabanzi Gerald y’omu ku kibinja ky’abavubuka ababbi abadde anoonyezebwa nga banne bakwatibwa bali Luzira. Agamba nti ono yakwatibwa mu bikwekweto ebyakolebwa Poliisi nga efuuza abatagoberera biragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ebyokulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 nga yasangibwa aguddewo edduuka lye ku ssaawa ssatu ez’ekiro. Yatwalibwa ku Poliisi mbu wabula bweyatuusibwayo nabaddukako nga tebanamuyingiza kadduukulu nti era yakomyeewo nkeera nga abanja ssimu so nga teyatuusibwa ku counter.
Onyango agamba nti ono essimu ye erabika yamuggwako nga adduka ku Poliisi. Bagezezaako okuddamu okumukwata wabula natoloka era nebamuwongera nebamukwata nga Poliisi yakozesezza amaanyi agasaanidde okumukwata Onyango bwagamba. Onyango yebazizza nnyo abasirikale olw’okwolesa empisa n’obukakkamu nga baddamu okumukwata.