Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 268 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omuvubuka akase namukadde akaboozi era n’amutta

January 6, 2017 · Mubiru Ali

Police e Buwama mu Disitulikiti y’e Mpigi egombyemu obwala omusajja wa myaka 25 ateeberezebwa okukkira namukadde ow’emyaka 70 naamukwakkulako ekya Jjulayina n’oluvannyuma naamutta.

Omwogezi wa Police mu kitundu kino, Noah Sserunjogi agamba nti agombeddwamu obwala ye Joseph Bukenya nga olwamaze okukaka namukadde ono Mariam Nakaboye akaboozi n’amufumita akaso mu mutwe era okukkakkana nga akkiridde e Kingibantu.

Sserunjogi agamba nti Bukenya ono guno sigwemulundi ogusoose okukola kino, era abadde yaakava mu kkomera .