Omuti gw’amasannyalaze gukubye Crime Preventer n’akalirawo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Entiisa ebuutikidde abatuuze booku luguudo Bananuka ekisangibwa mu Divizoni y'e Kakooba mu Munisipaali y'e Mbarara omuti gw'amasannyalaze bwegugwiridde Crime Preventer n'akalirawo. 

Omugenzi ategeerekese nga Robert Kibogo nga abadde mutuuze ku kyalo Rwentondo ekisangibwa mu Divizoni ye Kakooba ng'abadde akolera ku Police y'e Kakooba mu Munisipaali y'e Mbarara.  

Samson Kasasira, aduumira Police mu bitundu by'e Rwizi  agamba nti batandise okunoonyereza  ku njega  eno wabula bo aba UMEME tebannabaako kyebanyega 
 

Share.

Leave A Reply