Omutendesi asindikiddwa ku alimanda lwakubba pound 37000

Hitiyaremye Venuste 32, asindikiddwa ku alimanda omulamuzi wa Kkooti ya Kira lwakubba Pound 37000 nga zaali za mukama we. Ono yakwatibwa Poliisi nga yasangibwa yekwese mu loogi ya Rockie Guest House ku Old Kampala.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti ono ssente yazibba mu motoka yamukama we nga 1-june-2018 okuva olwo nabula.

Ono abadde ateekateeka okuddukira e Burundi, oluvannyuma lw’okunyizibwa ono yemenye nakiriza nti ddala kituufu ssente zino yazibba okuva ku boss we Fr. Hubat Twajirayezu owa Don Bosco Children and Life Mission (CALM). Ono yasangiddwa ne Laptop empya, Euros 13090, Rwanda Francs 5000 ne 192,000 eza Uganda n’ebintu ebirala.

 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Omubaka w’e Kole afunye akabenje