Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,139 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Omutembeeyi yeesudde okuva ku kizimbe naafiirawo

June 1, 2016 · Mubiru Ali

Omutembeeyo atategeerekese mannyage  yeggye mu  bulamu bwensi eno bweyeesudde okuva ku kizimbe waggulu ekya Nana Center  ekisangibwa mu kibuga wakati okwolekana ne paaka  empya mu ttuntu lya leero naagwa naakalirawo nga kiteeberezebwa nti aba KCCA bamuwambye ebyamaguzubye byabadde atembeeya .

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti aba KCCA baawambye ebyamaguzi by’ono nga kati mugenzi ku ssaawa nga bbiri ezokumakya . Wabula alinze okubimuddiza nga buteerere era  ku ssaawa nga munaana omugenzi abuuse okuva ku mwaliriro ogwokusatu neyekkata ku ddimwa era naafiirawo .

Tabadde nakiwandiiko kyonna kimwogerako okuggyako emitwalo musanvu (70.000) gyabadde nagyo mu nsawoye .

OC  wa CPS Atuhaire Gerald akulembeddemu abaserikale okuggyawo omulambo akasasizza enjega eno .