omutaka kisolo ow’ekika ky’engonge atongozza abakiise abaggya

Omutaka Kisolo ow’ekika kye Ngonge atongozza abakiise abaggya ku Lukiiko olukulembera Ekika kino. Omukolo gw’okutongoza gubadde ku woofiisi y’ekika e Kabuusu, Lubaga.

Bwabadde atongoza olukiiko luko, Omutaka asabye abazzukulu okuteeka essira kwebyo ebitwala ekika mu maaso, beewalire ddala abo abenoonyeza ebyabwe abalemesa enkulaakulana z’ekika.

Ye Katikkiro w’ekika kino, Salongo Edirisa Kitandwe, aloopedde Jjaja enteekateeka empya ezibagiddwa okutwala Ekika mu maaso era naamuloopera ebisomoozo ebizingamizza emirimu mu Kika nga muno mwemuli abeegwanyiza entebe ya Kisoro.

Ku mukolo guno bazzukulu ba Kisoro bakungaanyiza obukadde obusobye mu butaano (5m) n’endala obukadde mukaaga abazzukulu zebeeyamye okuteekawo ekibumbe mu kibanja ky’ekika kyabwe ku luguudo lwa Kabakanjagala.

Omukolo gwetabiddwako Minisita eyawummula, omubeezi ow’ensonga za Buganda ebweru Charles Bwenvu, ne Kaggo eyawummula Tofiri Malokweza.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Akalulu kasobola okukyuusa obukulembeze