Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 277 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omutaka Gabunga ayanjulidde Katikkiro olukiiko olufuzi olw’ekika

March 13, 2020 · Mubiru Ali

Omutaka Gabunga ow’ekika kye Mmamba Mubiru Ziikwa, ayanjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga Olukiiko olufuzi oluggya olw’ekika.

Kino kidiridde olw’abamu abaali ku lukiiko olukadde okugenda mu mawulire nebaasanguza ebyama by’ekika kino.

Mu kwogerakwe, Katikkiro ategeezezza nti, nga wabaddewo obutali bumativu mu Bika, kirungi ensonga egonjoolwe mu Kika munda.
Akubirizza ebika byonna bibeere nentereeza y’obukulembeze nga eviira ddala Waggulu Ku kasolya okukka wansi ku nnyumba. Abasabye bettanire enkola y’ekittavu eyambye ennyo Ebika okwekulaakulanya.

Era abeebazizza ku nteekateeka ya Gabunga Education Centre egendereddwamu okusomesa Bazzukulu ba Gabunga.

Mu Kika kye Mmamba mwemuva Omutaka Ssemanobe akola emikolo ku Mulangira agenda okutuuzibwa ku Namulondo e Naggalabi.