Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 301 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Omutaka akulira Ekika ky’e Ngo asisinkanye Munnamateeka Kavuma

June 26, 2025 · Mubiru Ali
Jjaja Muteesaasira Keeya Tendo Namuyimba, Omutaka akulira Ekika ky’e NGO, asisinkanye muzzukulu we Munnamateeka Derrick Kavuma, Ssaabasajja Kabaka gwe yasiimye akulire olukiiko olutaba ebibiina by’abavubuka ba Buganda olwa Buganda Youths Council nga Ssentebe w’alwo.
Jjaja Muteesaasira asibiridde muzzukulu we ono Kavuma entanda ey’okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa Ssaabasajja Kabaka awatali ku mutiiririra.
Ssentebe Derrick Kavuma yeyamye obutaswaza Bwakabaka, Omutaka, Ekika kye, n’abazadde abamuzaala era akakasizza nti agenda kuweereza n’obumalirivu, mu bwetoowaze era mu buntubulamu.
Derrick Kavuma awerekeddwako abavubuka okuva mu Kika ky’e NGO, abakulembeze b’abavubuka ku Lukiiko lw’Abavubuka n’abalala.
#ffemmwemmweffe