Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 759 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Omusumba w’abalokole n’omukozi bafiiridde mu septic tank

July 21, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abantu babiri bafiiriddewo e Luweero oluvannyuma lw’okugwa mu kinnya kya septic. Pr. Lule Goefrey aka PR. Bill Gates owa All Saints Worship Centre esangibwa mu Luweero Town Council mu zooni y’e Kiyengye yafiiridde mu kinnya bwabadde agezaako okutaasa omukozi Abdul Ssebadduka gweyaleese okukola Bio Gas nga abadde alaajana oluvannyuma lw’okugwebwako omukka ogw’okussa.
Kigambibwa nti Pastor abadde agezaako okumusikayo n’eddaala naseerera naggwayo. Poliisi eyitiddwa okubayamba wabula nayo neremererwa nga omusirikale naye abadde afiiriddeyo olw’okuba nti ekyuuma ky’abadde aweese okumuwa omukka kibadde tekisibiddwa bulungi.