Omusumba w’Abalokole amenye essabo nabbamu ebintu

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kamuli ekutte Omusumba w’Abalokole akirizza okubba ebintu mu ssabo ebimu nabikozesa mu kkanisa ye. Mw. Michael Kasadha omwogezi wa Poliisi mu Busoga North agamba nti Pastor Alex Mukisa owa Prayer-force Ministries e Butabala, mu Disitulikiti y’e Kamuli yeyakirizza okubba ebintu okuva mu ssabo.
Kigambibwa nti Mukisa yagenda mu ssabo ya Paul Alilumboyo nabulawo n’ebintu omwabadde ssente obukadde 3, amayembe, ebigali omwabadde akakadde 1 mu emitwalo 60 wamu n’engoye z’abalwadde.
Alilumboyo agamba nti bweyali agenze mu Teso Sub-Region okukwata ebyokoola omuntu yamenya nayingira mu ssabo lye nti era omu ku balwadde be yeyamutegeezezza nti yalabye olugoye lwe olwa Bytil oluweza mita 3 mu Kkanisa y’Omulukole amanyiddwa nga Mukisa nga balutadde ku wolutaali.
Muksia agamba nti ye bweyayingira mu ssabo yatwala gomesi n’amasuuka byeyatwala ku wolutaali y’ekkanisa ate ggo amayembe n’ebirala ebyali mu ssabo yabisabira binafuwe kuba abagoberezi be baali bemulugunya nti abasawo b’ekinnansi babba wabula neyegaana okutwala ssente.
Share.

Leave A Reply