Omusumba omukulu (Dean) owa Lutikko y’e Namirembe Venerable Canon Ssaalongo Jonathan Kisawuzi Kisembo, atuuziddwa

Omusumba omukulu (Dean) owa Lutikko ye Namirembe. Venerable Canon Salongo Jonathan Kisawuzi Kisembo, atuuziddwa mu butongole olwa leero ku mukolo ogubadde ku Lutikko e Namirembe.
Bishop Wilberforce Kityo Luwalira yakulembeddemu okusaba era yatuuzizza Omusumba Kisawuzi.
Obwakabaka bukiikiriddwa bulungi ku mukolo guno era Abakungu okuva e Mengo bakulembeddwamu Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek Patrick Luwagga Mugumbule.
Venerable Kisawuzi azze mu bigere bya Rev. Canon Benon Kityo eyawummula oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65.
Omukolo gwetabiddwako; Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza Owek Henry Sekabembe Kiberu, Omutaka w’Ekika ky’Engo, Muteesaasira Namuyimba Tendo, n’abakungu okuva mu Gavumenti ya wakati.

Leave a Reply