Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 132 listening Simba FM Live

Omusomesa wa Pulayimale yewadde emmimbiri n’afa – Rakai

August 1, 2016 · Mubiru Ali

Omusomesa mu ssomero lya Pulayimale mu Disitulikiti y’e Rakai yeggye mu budde oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gy’okugunjawo abasomesa n’abayizi abempewo.ย 

Joseph Lubaga Edward nga abadde musomesa mu Rwensambya Primary School yeewadde obutwa eggulo oluvannyuma lw’okuteebwa ku kakalu ka Police ku misango egyamuggulwako.

Kinajjukirwa nti ku lwokuna lwa ssabiiti ewedde RDC Charles Mubiru ne Benon Mugabe Ssentebe wa Disitulikiti y’e Rakai nga bali wamu ne Police baakola ekikwekweto okufeffeta abakozi mu bitongole bya Gavumenti era okukkakkana nga bayodde abakulu b’amasomero kkumi.

Lubega abadde amaze ennaku ssatu mu kaduukulu ka Police wabula olwayimbuddwa n’anywa emmimbiri.