Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 178 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omusomesa eyasibye akapapula ne bamulya 500.000 yeetuze

November 18, 2016 · Mubiru Ali

Omusomesa yeeyimbyemu ogwa kabugu n’alembalemba olw’ekaganga oluvannyuma lw’okusiba ssente ze zaabadde nazo emitwalo 500.000 ku mupiira naye negutayitamu.

Richard Byansi abadde musomesa asomesa ebyafaayo mu ssomero lya Mayuge Central SS  erisangibwa e Mayuge , kigambibwa nti Byansi ono mu ssabbiiti eyise yatunda pikipiki ye emitwalo 600.000, naye n’akwatako emitwalo ataano n’agasiba ku mupiira nga agamba nti ttiimu ya Congo yali yaakuwuttula Yuganda wabula omupiira bwegwamusala, naye kwekusalawo  neyeeyimbamu ogwa kabugu.

Wabula ab’enganda ze basanze omulambo gwe nga gutandise n’okuvunda era omwogezi wa Police mu ttunduttundu lya Busoga , James Mubi yaatubuulidde bino .