Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 825 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Omusomesa eyabadde ayagala okweganzika ku muyizi akwatiddwa

January 17, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti Poliisi y’e Kanyanya bweyakutte Omusomesa Kato John Ssefuma 40 nga musomesa mu ssomero e Mityana wabula ngabeera mu Disitulikiti y’e Mukono kubigambibwa nti yabadde agezaako okusendasenda omuyizi owemyaka 15 mu ssomero lyerimu gyasomesa okwegatta naye.
Sheilah 26, omutuuze wa Erisa Zone, Kyebando mu Kawempe nga yalabirira omuyizi ono yeyaguddewo omusango nategeeza nti bategeera ku bikolwa byomusomesa ono nga bayita ku mboozi ya WhatsApp gyeyali anyumya n’omuyizi ono era nebamusalira amagezi okumuyita akyale. Omusawo wa Poliisi yakebedde omwana ono nesangibwa nga babadde tebanegatta.