Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Omusomesa asangiddwa mu loogi nga mufu

August 3, 2018 · Mubiru Ali

Nima Sosipateri nga abaddde musomesa muttendekero lya Uganda Technical College ettabi lya Elgon asangiddwa ku makya nga afiiridde mu loogi ya Savers Guest House e Bugembe town mu district y’e Jinja.

Okusinziira ku Patrick Nabongo director wa Loogi agamba nti Nima yapangisa room enaku ssatu eziyise era nga abadde mulamu bulungi wabula kibuwunyisizza okumusanga nga yafudde ali bwereere.

Kigambibwa ono yabadde aze ku supervision y’omuyizi w’ettendekero eyabadde akola internship mu Jinja.

Phinehas Kidiba muganda w’omugenzi agamba nti Nima yamukubira essimu ku lw’okusatu namugamba agambe abewuwe nti ye tagenda kudda kuba yekyaaye.