Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 74 listening Simba FM Live

Omusomesa agambibwa okiviirako omuyizi okufa ayooleddwa Police

July 27, 2016 · Mubiru Ali

Omusomesa wa Secondary mu Disitulikitu ye Kaliro agombeddwamu obwala Police enkya ya leero lwa kuviirako kufa kwa omu ku bayizi be .

Omusomesa ono Kenneth Waako myaka 25 nga musomesa mu Namugongo Seed SS e Kaliro akedde mu kisulo ky’abayizi okubazuukusa okusoma .

Omusomesa bw’alabye abamu beekuluntaza , kwe  kweyambisa omuggo okufubutula abayizi ababadde beefudde nampulira zzibi wabula omuyizi Siraje Ssegawa (S.1) abadde ku katanda waggulu n’awanukayo n’agwa ku ttaka omusomesa n’amuyisaamu obuggo 2 wabula kimubuuseeko okulaba nga omuyizi abadde azirise  era  n’afa nga addusibwa mu ddwaliro . Kitalo !