Omusirikale wa UPDF omu atiddwa e Zombo

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’eggye ly’eggwanga erya Uganda Peoples’ Defence ForcesUPDF Brig. Flavia Byekwaso avuddeyo nategeeza nga eggye lya UPDF olwaleero ku ssaawa kumi nabbiri ez’enkya e Zue mu Zombo bwerirwanaganye n’abasajja 20 ababadde befudde abakozi mu kibira.
Babiri ku bano bakwatiddwa 4 nebattibwa, emmundu emu wamu n’obusaale bikwatiddwa. Ekyanaku omusirikale wa UPDF 1 attiddwa. Kigambibwa nti bano bakibinja kyabayekera ekya CODECO okuva mu ggwanga lya Democratic Republic of the Congo – DRC.
Share.

Leave A Reply