Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,360 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omusirikale wa UPDF asimatusse okuttibwa empologoma

April 9, 2022 · Mubiru Ali
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bitonde ebyomunsiko mu Ggwanga ekya Uganda Wildlife Authority kivuddeyo nekitengeeza nga bwewabadde empologoma eyatolose mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kibale National Park netandika okutigomya abantu ngebaliira ebisolo ssaako n’okulumya abamu.
Bwebatemeza ku kitongole, kyasindise abasajja baakyo abegatiddwako Uganda Police Force nekigendererwa kyokugikwata bagitwale awakuumirwa ebisolo wabula basanze abantu besaze akajegere nga batandise okugiyigga. Babasabye babaleke bakole omulimu gwabwe nga buteerere era okulekaana kw’abantu kwayongedde okugitabula.
Begatiddwa abasirikale b’eggye lya UPDF nga baduumirwa Lt. Col. Lubega James ku kyalo Rwabaragi mu Disitulikiti y’e Kagadi.
Omusirikale wa UPDF Cpl Amodoi Moses yalabye empologoma eno nagezaako okugikuba essasi wabula nemubuukira nemutaagulataagula, omusirikale omulala weyagikubidde essasi nagitta. Abatuuze bagiyikidde nebagisala nebagabana ennyama era aba UWA basobodde kutwala mutwe naddiba.