Omusirikale wa UPDF akubye bana amasasi e Namugongo

Omusirikale wa UPDF akwatiddwa lwakukuba basirikale banne bana amasasi nabalumya. Corporal Joram Tumwesigye ku camp emu e Namugongo yeyesuddemu akambayaya nakuba banne bana amasasi olw’ensonga etanategeerekeka. Omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire agamba nti abalumiziddwa badusiddwa mu ddwaliiro nga bali mu mbeera mbi.

Brig. Karemire ayongedda nasambajja ebyabadde bisoose okufuluma nti omusirikale ono yabadde akubye abalamazi bataano nabatta.

Fr. Alex Oketch avunaanyizibwa ku kwogerera emikolo gy’okulamaga naye akikakasizza nti mpaawo mulamazi yalumiziddwa yadde okufa mu njega eno eguddewo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Mulamuzi twetaaga okuwuliriza ku nnyimba Isiko zeyakozesa – Munnamateeka wa Isiko