Omusirikale wa UPDF akubiddwa ejjinja ku mutwe

Omusirikale wa UPDF abadde aleeteddwa okukuuma emirembe mu kulonda kw’aba ssentebe mu District ye Lira, Ireda Central Park mu Central division akubiddwa ejjinja nerimwasa omutwe. Bino byonna biguddewo oluvannyuma lw’abavunaanyizibwa ku by’okulonda okulwawo okutandika okulondesa abantu nebatandika okwegugunga.
Abatuuze bagamba nti omu kubesimbyewo Moses Eyen Independent okusaba abantu okuva mu bitundu ebirala bajje bamulonde.
Abasirikale ba Poliisi n’aba UPDF baleeteddwa bunambiro okukakanya abatuuze ababadde bataamye obugo era nebabakubamu n’omukka ogubalagala wabula omu ku batuuze nakasukira omusirikale wa UPDF ejjinja erimwasiza omutwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Owa People Power awangudde obwa Guild President ku Muteesa 1